Add range:
–
Add to devotional
Erinya lyo ligulumizibwe , Ayi Mukama Katonda wange! Nkusaba kulw’erinya lyo, mu lyo essaawa endaagaanye etuuse , era n’okuzuukira ne kutuuka , era n’okutya n’okukankana ne kubuna eri abo bonna abali mu ggulu ne kunsi, empereze, okuva mu ggulu ly’ekisa Kyo, era n’ebire by’ekisa ky’okwagala kwo, ebyo ebinasanyusa emitima gy’abaddu bo, abo abakyukfdde gyoli era ne bayamba Enzikiriza Yo.
Kuuma bulungi abadu Bo n’abazana Bo Ayi Mukama wange okuwona obusale, obw’okwerowoozaako, n’okulow aoza ebitaliimu, era obawe, okuva mu mikono egy’ekisa Kyo, ekire ky’amazzi, amateefu, ag’okumanya Kwo.
Ggwe mu mazima, Oli wamaanyi, Asingira ddala okugulumizibwa, Asonyiwa bulijjo, Asinga bonna obugabi.
Ettendo libe gyoli, Ayi Mukama Katonda wange! Kulw’ekisa kyo, kiriza omuwere ono okuyonka ku mabeere ag’ekisa ky’okusaasira Kwo n’okwagala Kwo, era omukulirize ku bibala eby’omuti ogw,omuggulu. Tomuganya kubeera mu bukuumi bwa mulala yenna, wabula Ggwe, Ggwe kenyini, nga bwe wamutonda n’omuwa obulamu nga oyita mu maanyi g’obwakabaka Bwo. TewaliKatonda mulala wabula Ggwe, Asingira ddala amaanyi, Amanyi byonna.
Ogulumizibwe, Ayi Omwagalwa wange asinga, muyiweeko obuwoowo obulungi, obw’emikisa gyoegisingira ddala, era n’omugabo Gwo ogusingira ddala obutukuvu. Omuyambe okufuna obubuddamo wansi w’ekisiikirize ky’erinya Lyo erisingira ddala okugulumizibwa, ggwe akutte mumukono Ggwo obwakabaka obwamanya gonna era nebikolwa ebirungi era n’ebirabo. Ddala ddala, Ggwe oli wa buyinza okukola nga bwosiima, era Ggwe mumazima oli w’Amaanyi, Agulumizibwa, Asonyiwa bulijjo, Ow’ekisa, Omugabi, Asingira ddala ekisa.
Ekitiibwa kibe gyoli, Ayi MukamaKatonda wange! Tomufeebya oyo gwewa gulumiziza nga oyita mu maanyi ag’obwakabaka Bwo obutagwaawo, era tomusuula wata oyo gwewakirizza okuyingira eweema ey’obutaggwawo Bwo. Onoomusula muguluka, Ayi Katonda wange, oyo gw’osiikirizza n’obukama Bwo, era on’omugoba okuva Woli, oyo, Ayi Okwegomba kwange, nga Ggwe obaddeobubudamo bwe? Oyinza okumussa wansi oyo gw’oyimusizza oba okumwerabira oyo Gwewasobozesa okukujukira? Oli wakitiibwa, Ggwe oli wakitiibwa ekiyitiridde! Ggwe okuva dda nedda, Ggwe Kabaka w’ebitonde byonna era Ggwe abiwa obulamu, era Ggwe emirembe n’emirembe, Ggwe olisigala nga Mukama ow’ebitonde byonna, era Ggwe abitonda. Oli wakitiibwa Ayi Mukama wange! Singa Ggwe otekeraawo okukwatirwa abaddu Bo ekisa, ani anabalaga ekisa, era singa tobayamba, ani anabayamba? Oli wakitiibwa, Ggwe Oli wakitiibwa ekitayogerekeka! Ggwe eyegombebwa mu mazima Go, era Ggwetusinza ffena, era Ggwe alaga obwenkanya, era Ggwe tuwaako obujjulizi ffena. Ggwe mu mazima oyagalibwa olw’emikisa Gyo. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Omuyambi mu kabi, Eyemalirira.
Erinya Lyo litenderezebwe, Ayi Mukama Katonda wange! Ggwe Ondabira ddala nga amaaso gange ngatunuuliza eri kisa Kyo, era nga elyenyi kyange kikyukidde eri eggulu ly’ekisa Kyo, n’okwagala Kwo, era nga emikono gyange gigoloddwa eri eggutu ly’obugabi Bwo. Amaanyi go gampaako obujulirwa! Buli kitundu kya mubiri gwange kikukowoola nga kigamba nti; Ayi Ggwe Omwagalwa w’ensi zonna era Mukama wabali mu ggulu ne kunsi, era okwegomba kw’emitima gyabo abewaddewo Gyoli! Nkwegayirira kulw’ennyanja eyo gyewakunganyi riza abatuuze abomu ggulu era n’abo abatuula kunsi, okuyamba abaddu Bo abo abakyalemeddwa okugituukako, n’okusemberera embalama zayo. Obayambe, Ayi Katonda wange okweja ku mulala yenna wabula Ggwe, era obayambe okwatula ettendo Lyo, n’okutendereza ebikolwa Byo. Obawe Ayi Katonda wange, omubisi ogw’emberenge ogw’ekisa Kyo, gubeerabize omulala yenna wabula Ggwe era bayimukiremu okuwereza Enzikiriza yo, era banywerere mu kwagala Kwo. Ddala ddala, Ggwe Mukama ow’obulamu bwabwe era ekigenderera kyabwe. Kale Ggwe bw’onobasuula muguluka, ani anabalabirira era bw’ebanatwalibwa ewala okuva Gyoli, ani anabayamba okukutuukirira Ggwe? Ndayira kulw’obuyinza Bwo! Tewali buddukiro bulala bwonna wabula Gyoli, era tewali bubudamo bulala wabula obubvro, wadde obukuumi bwonna okujako obukuumi Bwo. Zibasanze abo abagulumiza omulala yenna wabula Ggwe, era ba mukisa abegye ku byonna ebiri mu nsi era ne bekwala ku munagiro gw’obugabi Bwo. Bano! Be bantu ba Baha, mu maaso gaabo abali mu ggulu ne kunsi. Tewali Katonda mulala yenna wabula Ggwe, Amanyi byonna, Kagezi munyu. Ettendo libe eri Katonda, Mukama ow’ensi zonna.
Ayi Ggwe Mukama asingira ddala ekitiibwa! Yamba omuzaana wo ono omulo okuba ow’omukisa era omusanyufu; muyambe okukuumibwa ku mufuubeeto gw’obumu Bwo, era omuyambe okunywa ku kikopo ky’okwagala Kwo, olwo akusibwe era asanyusibwe, asobole okubunyisa obuwoowo bwo obulungi. Ggwe oli w’Amaanyi, oli wa Buyinza, era Ggwe Omanyi byonna, era Olaba byonna.
Ayi Katonda wange, nkusaba kulw’erinya Lyo erisingira ddala ekitiibwa, onyambe mw’ebyo ebinaleetera emirimu gy’abaddu Bo okugenda mu maaso, era n’ebibuga Byo, okukulakulana. Ggwe mu mazima oli na obuyinza kubintu byonna.
Tusaba Katonda, kulw’ekisa Kye, ayambe abo ababuziddwabuziddwa, basobole okuba ab’amazima era abenkanya, era obasobozese okulaba ebyo ebikyabalemye okutegeera. Ye mu mazima Ye Nnyini kisa, Lugaba, Asinga bonna obugabi. Abaddu bo, tobagoba okuva ku mulyango gw’ekisa Kyo, era tobagoba kuva mu mbuga Yo. Obayambe okugyawo olufu olw’ebirowoozo ebitaliimu n’okuyuza entimbe ez’ebirowoozo n’okusuubira okutaliimu. Ggwe mu mazima Ggwe nanyini byonna, Ali waggulu ennyo. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Ayinza byonna, Nnyini kisa.
Ayi ggwe anoonya amazima, bwobeera wegomba Katonda okuzibula amoaso go, oteekwa okwegayira Katonda omusabe era nga omwegayirira ettumbi nga ogamba nti: Ayi Mukama, nkyusiza obwenyi bwange eri obw’akabaka bw’obumu Bwo, era nnenyise mu nnyanja ey’ekisa Kyo. Ayi Mukama zibula amaaso gange galabe omusana Gwo, mu kiro kino eky’akazigizigi, era onsanyuse n’okwagala Kwo mu mulembe guno ogw’ekitalo. Ayi Mukama ompulize okuyita Kwo, era oggulewo enzigi z’eggulu Lyo mu maaso gange, bwentyo ndabe omusana ogw’ekitiibwa Kyo era nsikirizibwe obulungi Bwo. Ddala ddala, Ggwe Awa, Omugabi, Ow’ekisa, Omusonyiyi.
Essala ey’etteeka enyimpimpi esomwa omulundi gumu buli lunaku wakati we tuntu nenjuba ngegwa.
Mpa obulizi, Ayi Katonda wange, nti Gwe wantonda okuKumanya n’okukusinza. Nkakasiza ddala, mu kaseera kano, obutesobola bwange era no buyinza Bwo, obwavu bwange ku buggaga Bwo. Tewali Katonda mulala wabula Ggwe, Omuyambi mu kabi, Eyemaririra.
*“Essala ez’etteeka ezisomwa buli lunaku, ziri satu… Omukkiriza wa ddembe okulondawo nga bwayagala, emu ku satu, naye alagirwa mu teeka, okusoma emu kuzo, era nga atukiriza obulombolombo bwayo ugigenderako”.
*“Okunaaba emikono, nemumaaso, mbykwetegekera okusaba, nokutunula oludda Lwensonda [ oyokusingzu/okusuuta] (Bahji, Akka, Holyland, (Qiblih)) byetaagp bya nkalakkalira ebyokwatula essaala ezetteeka.”
*“Ku makya, mu mattuntu, n’akawungezi ebyogerwako mu saala ez’eteeka, biteegeeza etteeka wakatiwobuddenga busasaana, okutuusa mu tuntu, okuva mu tuntu okutuusa akawungeezi, n’okuvaakawungeezi okutuusa nga wayise wo essaawa bbiri nga enjuba emaze okuggwa”.